The United Church of Canada/L'Église Unie du CanadaTrouble reading this page? See our help page!
Kkanisa ya United Church kye kibinja ky’aba Protestant ekisinga obunene mu Canada. Tuweereza abantu abasoba mu bukadde obusatu (3 Million) mu bubondo 3677 mu nsi ya Canada. Era e Kkanisa yaffe etambulira ku mutido gw’ebyafaayo ebinyuvu mu kukulaakulanya Canada.
Yatandikibwaawo nga 10 June 1925 mu Toronto, Ontario aba Methodist a’ba Congregational Union, n’ensaanvu ku kikumi eky’enzikiriza y’aba Presbyterian bwebasalawo okwegatta. Abalala ab’egattako be baali aba General Council of Union Churches nga basiinziira okusinga mu bugwanjuba bwa Canada. Okwegatta kuno kwakola ebyafaayo mu nsi yonna nga okwegatta kw’amakkanisa okubereberye mu nsi yonna era kwafuna obututumufu mu nsi yonna. Okwegatta kuno kwaava mu kwemulugunya ng’essiira lyaali lisinga ku nsonga y’obukiikakkono bwa Canada n’okwagala okulongooza ku mulimu gw’aba minsani ebweeru w’eggwanga. Buli Kkanisa eyegatta yalina ebyafaayo mu myaaka egyakulembera omwaaka 1925.
Aba Huguenoti abaFaransa nga badduka okutulugunyizibwa amaangu ddala nga ekibiina kya Edict of Nantes, baleeta enzikkiriza ya Reformed Faith mu Canada. Naye mu nsi eno empya (New World), enkulakulana n’okugaziwa kwaabwe kwalina obukwakulizo obwabalemesa. Oluvannyuma lwa Nova Scotia okweyawula ku Bungereza mu 1713, okuva kw’aba Presbyterian mu Scotland ne Ireland kwababuukirira ensi y’aba Faransa. Abawule abasooka okuva e Scotland baali Daniel Cook, David Smith ne Hugh Graham abateekateeka Presbytery ye Truro mu 1786. Mu 1795, Presbytery eno yeeyuungibwaako endala eya Pictou, era nga mw’abo mwe mwaali abaSkooti. Mu 1817 ebibiina bino ebibiri, nga byegatibwaako abawule batonotono okuva mu Established Church ya Scotland, baasobola okweegatta nebatandikawo Synod ya Presbyterian Church ya Nova Scotia.
Nga Synod etandikiddwaawo, aba Presbyterian batandika okutuuka mu masekati n’ebugwanjuba bwa Canada. Nga bwe baakola mu buvanjuba bwa Canada, baleeta nabo enjawukana nnyingi mu kanisa y’aba Skooti era nebatongoza amatabi g’aba presbytery ne synod; nga eyasooka yali Presbytery of the Canadas mu 1818. Enteekateeka eno eya Synod yakozesebwa okutuusa ekitundu ekyasooka mu kyaasa eky’ekkumi n’omweenda, nga kyaava mu nsuubula y’empisa z’ekkanisa ye Scotland, n’okutuuka kw’abaseenze abaggya abyitibwa Dutch reformed Immigrants abaali teboogera luzuungu. Mu makati g’ekyaasa ky’ekkuni n’mweenda, enkyuukakyuuka yabaawo era mu 1875 okwegatta okw’enjawulo kwaleeta okukungaana kwaba Presbyterian okufuuka Presbyterian Church eya Canada.
Enzikiriza y’aba Methodist yava ku Lawrence Coughlan, omubuulizi enzaalwa eya Ireland, eyajja mu Newfoundland mu mwaaka 1765. Bweyaddayo e Bungereza, abantu beyakuunga abasinga ne befuula aba Methodist.
Mu kiseera ky’ekimu, aba Methodist baatandika okuseenga okuva mu Bungereza okudda e Nova Scotia; era mu bo mwaali William Black Sr.. Mu mwaka 1779 obutakaanya wakati waabwe kwaleetera William Black Jr., eyali emyaka 19 gyokka okukyuuka. Yatandika okubuulira enjiri, ng’akyaalira ebyaalo ebyaali bimuliraanye; era mu mwaka 1781 yabuna Nova Scotia okutandikawo ebibiina bya Methodist. Omulimu gwe gwatutumuka emyaaka ebiri oluvanyuma lw’abesenze Abangereza lwe beeyiwa mu Nova Scotia amangu ddala nga American Revolution ewedde.
Mu 1784 Black yatambula olugendo lwe Baltimore, Maryland, okweetaba mu lukiiko olwatongoza Methodist Episcopal Church. Omulimu gwe yali akoze mu Canada era gwatwaalibwa e kkanisa eno okutuuka mu 1828 bwe gwetongoza.
Aba Methodist beeyongera okuseenga okuva mu Bungereza okudda mu Canada era nga aba Presbyterian be Scotland, baleeta enjawukana mu nzikiriza ye ki Methodist eza Bungereza. Eneegatta mu 1874 ne 1884 kyaleetawo okutongoza Methodist Church eya Canada.
Omukutu guno gwatandikawo nga abagoberezi bakkiriza ekiteeso kya gavumenti ye Bungereza okubasuubiza ettaka ery’obweerere singa baseenga e Nova Scotia. Mu 1795 abaseenze bangi baatandikawao obubuga ne bakuunga n’amakkanisa; Kkanisa eyasooka yali Chester; era mu 1761 Kkanisa ye Liverpool nayo neetongozebwa. Mu 1760 e Ggwanga effuge lyatandikibwa e Maugerville mu New Brunswick; Kkanisa eyasooka mu Newfoundland yatondebwa mu 1846. Mu 1801 aba Congregational baweereza omuminsani okutegeka Kkanisa mu Quebec. Era ekyo ne kireeta okutondebwaawo kwa Congretational Union eya Ontario ne Quebec eyegatta n’ekibiina ekyasookawo mu 1906. ekibiina kino ekipya ekya Congregational Union eya Canada kyafuna Ontario Conference of American –based United Brethren in Christ mu 1907.
E Kkanisa eyasembayo mu kwegatta kw’amakkanisa mu 1925 yali General Council of Union Churches ezaava mu Buggwanjuba bwe Canada. Ekibiina kino kye kyaali omusiingi gw’ekiteeso jya Plan of Union ekyaleetawo okutongozebwa kwa United Church ya Canada. Ebbago ly’ekiteeso lyakubibwa mu 1908. Mu Novemba, omwaka ogwo, akabondo akapya katoondebwa mu Saskatchewan akakkiriza ebbago lino eppya. Amakkanisa amalala ne gagoberera. Mu 1912 obuboondo buno bwakola general Council okukwaataganya ensonga enkulu mu bo, naddala ekya Plan of Union.
Wabula mu 1925, waaliwo obutakkaanya mu kwegatta. Asatu ku kikumi mu ba Presbyterian bawakanya eby’okwegatta ku makkanisa amalala okutonda Presbyterian Church ya Canada.
Mu kutuukiriza obweyamo “okubeera Kkanisa ewagira enkolagana y’awamu”, United Church yafuna omukisa gw’obuboondo bungi okugyeegattako okuva mu mwaka 1925. General Coucil ey’okuna eya United Church mu 1930 yakakasa okwegatta kwa synod eya The Wesleyan Methodist Church ya Bermuda ne United Church ya Canada nga akakwakulizo akateekebwaawo kaali nti Synod ejja kukola nga Presbyterian ye Maritime Conference nga tewali kutabangula buyiinza n’eddembe eryaweebwa Legislature ye Ber muda mu tteeka lya Wesleyan Methodist Church mu 1930. General Council ey’abiri mu bbiri eya United Church ya Canada mu 1966 yayisa ekiteeso kya Plan of Union nga mukyo Canada Conference of the Evangelical United Brethren Church yafuuka kitundu kya United Church ya Canada okutandika nga January 1, 1968.
Mu myaaka egyaddirira, obubondo bw’abaKristaayo obulala bwegatta ku United Church. Mu 1943, okuteesa ne Anglican Church eya Canada kwatandika nekumala emyaaka abiri. Oluvannyuma Christian Church (Disciples of Christ) beegatta mu nteeseganya. Akakiiko akakulu akaali kakiikiridde amakkanisa asatu kaatongoza Plan of Union mu 1972, naye emyaka esatu eggyaddako ekiteeso kyagaanibwa Anglica Church ya Canada. Okuteesa ne Christian Church nekukomekkerezebwa mu 1985.
Jjuuzi, Anglican Church eya Canada ne United Church eya Canada zaatandise enteeseganya nate. Zino zeezisoose okubaawo okuva ku bitesso bya Plan of Union mu myaaka gy’ensaanvu.