The United Church of Canada crest /L'Église Unie du Canada
3250 Bloor St. West, Suite 300
Toronto, ON M8X 2Y4 Canada
Toll-Free: 1-800-268-3781
Fax: 416-231-3103
Website: www.united-church.ca
Loading
Quick Links

Overview

Akawayi k’amateeka

Trouble reading this page? See our help page!

Nga bwe kyategekebwa akakiiko ak’awamu okuva mu The Presbyterian Church mu Canada, The Methodist Church, and the Congregational Churches eza Canada, n’ekikakasibwa Kooti enkulu ey’Amakanisa gano, era nekitererezebwa The United Church eya Canada.

Eby’awamu

1.1

Erinnya ly’e Kkanisa lyakakasibwa aba Presbyterian, Methodist ne Kkanisa z’aba Congregationals mu Canada libeere "The United Church of Canada."

1.2

Kijja kubeera nkola ya United Church okulungamya omutima gw’obwegassi nga kisuubirwa nti omutima guno, mu dda, guliyaamba okulaga enkolagana eno okubuna Eggwanga lyonna.

Etteeka

2.0

Ffe, abakiise mu Kkanisa z’aba Presbyterian, Methodist, ne Congregationals, tulazaanya enkola y’Ekikristaayo ey’awamu muffe. Mu kukola kino, tuziimba ku musiingi ogwalekebwaawo abatume n’abalaanzi; Yesu Kristo Omutwe gw’Ekkanisa. Tukkaatiriza enzikiriza yaffe mu byawaandiikibwa mu Ndagaano empya n’enkadde ng’ensibuko y’enzikiriza yaffe mu Bukristaayo. Twatula enjigiriza ya Credo ey’Ekkanisa eyasooka. Tussa e kitiibwa mu nsonga ez’Evanjiri ey’ebiseera bya Reformation, nga bwezateekebwaawo aba Presbyterian Church eya Canada, Congregational Union eya Ontario ne Quebec, neb a Methodist. Twanjula ekirangiriro kino, mu bufuunze, ng’enzikiriza yaffe ey’awamu, gyetwanjula eri abantu ng’egoberera ebyawaandiikibwa ebitukuvu.

2.1 Akawayiro I. Ku bya Katonda.

Tukkiriza mu Katonda omu; Omulamu, ataggwaawo, atakyuuka mu kubeerawo kwe ne mu butuukirivu bwe. Mukama waffe ajudde okwagala, amazima, asinga e kitiibwa mu butuukirivu, atasangika mu magezi, ajudde e kisa n’okulumirirwa, ajudde ebirungi n’amazima. Tumusiinza awamu mu Trinita, Kitaffe, Mwana ne Mwoyo Mutuukirivu, Abasatu mu Omu, abeenkanya amaanyi n’ekitiibwa.

2.2 Akawayiro II. Ku by’okubikulirwa.

Tukkiriza nti Katonda yeyoleka mu buttoned, mu byafaayo ne mu mutima gw’omuntu era eyasiima okweyolekera eri abantu ng’ayita mu balaanzi abayambibwaako Mwoyo mutukuvu. Era yeyoleka ne mu Yesu kristo, Kigambo eyefuula Omuntu, mu kittibwa kya Katonda Patri era mu butonde bwe. Tufuna Endagaano empya n’enkadde ezaweebwa Katonda nga zijjude enfuga ey’okukkiriza n’obulamu, ezirimu okubikulirwa kw’enneema za KatondaA, era n’obujulizi bwa Kristo.

2.3 AkawayiroIII. Ku ntegeka ya Katonda.

Tukkiriza nti entegeka ya Katonda etwaalirwa wamu nti obulokozi bw’omuntu tebugyibwaawo, era Katonda ssi muwandiisi wa kibi, naye engabirira ye ekuunga ebintu byonna mu kutuukiriza e kyeyamo kye okulaga e kitiibwa kye.

2.4 Akawayiro IV. Ku butonde n’engabirira.

Tukkiriza nti Katonda ye Mutonzi era alabirira buli kimu; era asukulumye byonna. Yatonda omuntu mu kumufaanana, akungaana naye, nga wa ddembe okuloonda ekirungi ku kibi, ng’era obuvunaanyizibwa buli eri oy’Omutonzi, era Mukama.

2.5 Akawayiro V. Ku kibi ky’omuntu.

Tukkiriza nti bajjajjaffe abasooka, nga bakemeddwa, baloonda e kibi nebava ku Katonda era ne basiingibwa amaanyi ga Sitaani. E kiboonerezo kyaali kya kufa; era olw’ensoonga eyokujeema kuno, abantu bonna bazaalibwa n’ekibi, tumenye etteeka lya Katonda era teri n’omu alokoka nga talina nneema ya Katonda.

2.6 Akawayiro VI. Ku kisa kya Katonda.

Tukkiriza nti mu kwagala okuungi, Katonda yawaayo Omwana we Omu yekka okubeera Omulokozi w’abonoonyi; era ne mu Vanjiri agabirira obulokozi bwe eri abantu bonna. Tukkiriza nate nti Katonda mu kwagala kwe okuyitiridde yawa Mutabani we abantu abayitirivu abalondeddwa mu Kristo mu butuukirivu, mu buweereza, n’obulokozi.

2.7 Akawayiro VII. Ku Mukama Yesu Kristo.

Tukkiriza mu Mukama waffe Yesu Kristo, mwetuyita yekka okutuuka ewa Katonda. Era ku lwaffe n’obulokozi bwaffe yafuuka Omuntu, ku lwa Mwoyo Mutuukirivu, nazaalibwa Bikira Maria nga talina kibi. Muffe, ayolesa Katonda mu Kigambo kye ne Mwoyo; n’amanyisa etteeka lya Katonda. Ku lw’obununuzi bwaffe, yatuukiriza obutuukirivu bwonna, ne yewaayo nga sadaaka ey’a nammaddala ku musaalaba, okutuukiriza amazima, n’okusasulira ebibi by’ensi yonna. Yazuukira mu bafu naalinnya mu Ggulu gyayima okutuwolereza. Mu mitima gy’abakkiriza abeeramu; waggulu waffe atufuga; eri ye yekka tuwa okwagala, okugondera n’okusiinza ye ng’Omulaanzi, Omusuumba era Kabaka.

2.8 Akawayiro VIII. Ku Mwoyo Mutukuvu.

Tukkiriza mu Mwoyo Omutukuvu, Mukama awa obulamu asibuka mu Kitaffe n’Omwana, atambulira mu mitima gy’abantu okubawabula n’okubawugula ekibi ate era n’okubakunga okukola ebirungi. Mu ye, Katonda mwetegefu okuwa buli amusaba. Tukkiriza nti yayogerera mu balaanzi okumanyisa amazima eri abantu okulokoka; era nga ayita mu Mulokozi, yatumibwa okuvunaana e kibi, okutangaaza ebirowoozo by’abantu mu kumanya Kristo n’okubawaliriza okugondera e Vanjiri. Era abeera mu Kkanisa, nga asigala mu buli mukkiriza nga omwoyo gw’amazima, amaanyi, obutuukirivu, n’okwagala.

2.9 Akawayiro IX. Ku kwezza obuggya.

Tukkiriza mu kwezza obuggya mu Yesu Kristo ng’ayita mu Mwoyo wa Katonda agaba e kitone ky’obulamu n’enkola Ye ng’akozesa e mikutu egya bulijjo mu mazima g’e Kigambo kye okutuukiriza empeenda z’obutonde bw’omuntu.

2.10 Akawayiro X. Ku nzikiriza n’okwenenya.

Tukkiriza nti okukkiriza mu Kristo kituviiramu enneema y’okulokoka nga tumwaniriza muffe, tumwesiga era tuwummulira mu Ye ku nsonga z’obulokozi zayisa mu Vanjiri, era nti obulokozi buno bujja n’okwenenya; nti bwe twenenya ne twewala e kibi tussah enkola mu kugondera Katonda.

2.11 Akawayiro XI. Ku kukakasa mu by’ensikirano.

Tukkiriza nti Katonda, nga tumugondera n’okumanya Sadaaka ya Kristo, asonyiwa abamweyuna ne bamukkiriza nga Kabona era Omulokozi. Mweekyo, Katonda abaaniriza n’abafuula abaana ab’ensikirano ey’enkalakalira.

2.12 AkawayiroXII. Ku by’obutukuvu.

Tukkiriza nti abo abezza obuggya, bakula mu nfaanana ya Kristo nga beeyuna eri Ye, mu kubeerawo kwa Mwoyo, n’okugondera amazima nti; Obulamu obutuukirivu kye kibala n’obujulizi bw’obulokozi. Bti era essuubi ly’omukkiriza liva ku nneema ya Katonda. Mu kino tweyongera okukula n’okukakasa okwagala kwa Katonda okuli muffe.

2.13 Akawayiro XIII. Ku neegayirira.

Tukkiriza nti tuwalirizibwa okusembera eri Katonda, Kitaffe mu Ggulu mu Linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, ne ku lwaffe ne ku lw’abalala nga tumweyanjulira okuva ku ntobo y’emitima gyaffe ng’abaana be. Tumuwa e kitiibwa ekisaanira Erinnya Lye nga tumusaba e kitiibwa kye kyeyoloke mu nsi nga bwe kiri mu Ggulu, nga twenenya e bibi tumusaba e byetaago by’obulamu obw’omunsi n’obw’emirembe egiriggya. Tukkiriza nti yadde buli ssaala ewerekerwa okuwolereza kwa Mwoyo Mutukuvu, Katonda atuwa bye twetaaga ng’ayita mu magezi ag’enjawulo n’obuggaga bw’enneema n’e kisa kya Yesu Kristo.

2.14 Akawayiro XIV. Ku Tteeka lya Katonda.

Tukkiriza mu mpisa y’etteeka lya Katonda ng’ayita mu Mateeka Ekkumi agajulirwa abalaanzi mu nsomesa n’enjigiriza za Yesu Kristo nti lye tteeka ery’amazima n’obwenkanya. Tukkiriza nti Katonda asuubira buli muntu okweyisa mu bwesiimbu, okwagala e kisa n’okutambulira mu Ye; nti era mu ekyo kyokka mwetuyita okwolesa Obwakabaka bwa Katonda.

2.15 Akawayiro XV. Ku Kkanisa.

Tusaakaanya e KKanisa emu e Nkatoliki wawamu n’ekibinja ky’abatuukirivu aba buli myaaka n’ensi, nga bagatiddwa ne Mwoyo Mutuukirivu ne Yesu mu Kommunion y’emu. Tukkiriza nti, mu kusiima kwa Katonda, KKanisa ye yakubaawo mu nkolagana y’obwa sseruganda ngerimu abo abamukkiriza era abamugondera n’abaana baabwe abalala ababatiza okumisiinza, okutuukiriza amasakramentu, okujjumbira obutuukirivu n’okubunyu e Vanjiri wonna mu Yesu Kristo, Kabona era Omulokozi.

2.16 Akawayiro XVI. Ku Masakramentu.

Twatula amasakramentu abiri, okubatiza n’ekyeggulo kya Mukama waffe, agateekebwaawo Yesu ng’obubonero n’ebyaapa ez’omukago ogwatongozebwa omusaayi gwe ogw’omuweendo, ku lw’ekisaakye, akola muffe, atwongera amaanyi ,mu ku mukkiririzaamu; ekitwawula ku balala.

2.16.1 Okubatiza okw’amazzi mu Linnya lya Kitaffe, n’Omwana ne Mwoyo Mutukuvu ly’essakramentu eritugatta ne likakasa mu Kristo n’okutwa omwagaanya mu mikisa ky’endagaano empya. Abaliindirira obubatize obutuufu be bakkiriza, n’abaana abato nga bayanjuddwa bazadde baabwe mu nzikiriza y’ekikristaayo. Abazadde bano balina okutegeka abaana bano mu ngeri ebagunjula mu neeyisa n’enkola ya Mwoyo Mutuukirivu basobole okufuna emigaso gy’esakramentu lino n’okugitegeera obulungi. Kkanisa erina obuvunaanyizibwa okulba nti eyaamba mu ngunjula eno.

2.16.2 E Kyeggulo Ky’Omukama ly’esakramentu lya Kommunio ne Kristo ngaali n’abantu be. Mu lino mwe muli okumenya omugaati n’okunya e vviini okujjukira Yesu nga Saddaaka ku musaalaba. Abamufuna mu kukkiriza, balya omubiri n’omusaayi gwe okubakusa, okubagumya n’okubakuza mu kisa. Bonna baanirizibwa ku ky’eggulo abo abaatula okukkiriza mu Yesu era abagondera amateeka ge.

2.17 Akawayiro XVII. Ku mulimu gwa Katonda.

Tukkiriza nti Yesu Kristo ye Kabona w’Eklezia. Era atonzeewo embunya y’Evanjiri, okukuza amasakramentu, obusumba, enjigiriza, n’obuweereza. Akuunga abantu bonna (Abasajja n’abakazi) okwenyigira mu mirimu gino, era nti e Kkanisa ng’eyambibwa Mwoyo Mutukuvu, eronda abo baayise era ne bakakasibwa ku mirimu gino.

2.18 Akawayiro XVIII. Ku nkungaana mu KKanisa.

Tukkiriza nti Kabona era Omukulembeze w’e Kkanisa ye Yesu Kristo. Okusiinza, okusomesa, empisa n’enfuga byonna birina okuba nga bigendera ku mutindo gwe nga bwasiimye mu Bantu abalonde. Yadde Kkanisa eyinza okuba n’abantu abatasaanidde, nga ffenna bwe tusobya, abakkiriza tebalina kweteekamu enjawukana kubanga Katonda y’agabira eri abo bonna abakowoola erinnya lya Yesu Kristo.

2.19 Akawayiro XIX. Ku kuzuukira, okulamula, n’obulamu obuvannyma.

Tukkiriza nti walibaawo okuzuukira kw’abaafa; abatuukirivu n’abatali batuukirivu mu maanyi ga Katonda alijja okulamula abalamu n’abafu. Abo abaliba tebeenenyeza baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo ate abo abatuukiridde balifuna obulamu obutaggwaawo.

2.20 AkawayiroXX. Ku buweereze obukristaayo n’okujaguza kw’enkomerero.

Tukkiriza nti obuvunaanyizibwa bwaffe ng’abatume era abaweereza ba Kristo okubunya obwakabaka bwe, okukola ebirungi eri bannaffe, okusiinza mu lwaatu ne mu biseera ebya kinoomu, okulongoosaanga olunaku lwa Katonda, okukuuma obutukuvu bw’obufumbo n’ekika, okuwanirira obuyiinza bw’eggwanga, n’okubeera mu mazima, obutuukirivu n’obwesiimbu kwoleka Yesu Kristo muffe. Tujjaganya mu kigambo kya Yesu, nga tuwagira okumubunya mu nsi yonna ; nga tukkaatiriza nti Katonda ali mu Kristo okuzza obuggya ensi eyali ezaaye nti era ajja kulokola buli muntu n’okumanyisa amazima ge. Tukakasa mu kukkiriza nti nga akozesa amaanyi ge n’ekisa, abalabe be baliwangulwa, n’obwakabaka bw’ensi bulifuuka Obwakabaka bwa Katonda waffe ne Kristo we.

Last updated:
2007/05/23
Created:
2007/05/23