The United Church of Canada/L'Église Unie du CanadaTrouble reading this page? See our help page!
Ekyaapa kino , ke kabonero akakulu aka United Church eya Canada, akateekebwa ku buli kiwandiiko, okusiigibwa, okukuba satifikeeti, ne layiseensi ez’amasakramentu. Kyatondebwa Rev. Dr. Victor T. Mooney ( Omuwanika wa United Church), era nekitongozebwa mu lukungaana olw’ekkumi n’olumu lwe baayita General Council mu 1944.

* See the Guidelines for Use if you are interested in using this image.
Eri Abakkiriza mu Kkanisa yaffe, e kyaapa kino kya mugaso nnyo mu byafaayo; era ne mu kutujjukiza eby’omwoyo. Endabika yaakyo eva mu kifaananyi kya kyenyanja: akabonero k’abakkiriza abatusooka. Ebigambo “Yesu Kristo, Mwana wa Katonda, Omununuzi” biva mu kigambo e KiGereeki ekitegeeza e Kyenyanja.
Ekyaapa kino kyakolebwa mu kwefaanaanyiriza Omusaalaba gw’Omutukuvu Andrea nga mulimu enyukuta X mu nsonda zaagwo nnya. X wakati, ke kabonero akalaga Kristo. Endala essatu zikikirira enkungaana ssatu; Congregational, Methodist, ne Presbyterian-abegatta okufuuka United Church eya Canada mu mwaka 1925.
Ebigambo mu lu Latini: ut omnes unum sint, ebyetooledde obubonero ku kyaapa, bitegeeza “Nti bonna babeere omu”; era byaava mu Yohanna 17:21. Bitujukiza nti tuli bagatte ate era e Kkanisa egatta.
Mu 1980, kyayisibwa nti United Church of Canada mu lulimi Olufaransa kyongezebweeko ku kyaapa nti: L’Eglise Unie du Canada.