The United Church of Canada crest /L'Église Unie du Canada
3250 Bloor St. West, Suite 300
Toronto, ON M8X 2Y4 Canada
Toll-Free: 1-800-268-3781
Fax: 416-231-3103
Website: www.united-church.ca
Loading
Quick Links

Overview of Beliefs

Overview of Beliefs

Trouble reading this page? See our help page!

Bino wammanga gwe musiingi United Church kweyimirira okulungamya abagoberezi baayo.

Bayibuli

Bayibuli ya muweendo nnyo mu United Church ya Canada. Nga ensibuko y’amagezi, okusaba kwa buli omu, n’okwegayirira, tukkiriza nti Bayibuli etuseembeza eri Katonda. Era esigala nga engeri essinga mu kutaambuza omulimu gwa Katonda og’obutoonzi n’obulokozi mu nsi ng’ate etuwa okusonyiwagan, okuwonyezebwa, n’obulamu obuggya mu Yesu.

Buli ssuula tugiyita”Kigambo kya Katonda”. Mu kino tutegeeza nti omuwaandiisi yayambibwaako Mwoyo wa Katonda.

Ate era nga tukimanyi nti ebitabo ebingi ebiri mu Bayibuli, z’engero ez’enkungaana ebbiri ezaali zigezaako okugondera Katonda mu biseera ebizibu – Yisirayiri n’ekibiina ky’abaKristu abasooka nga era ebimu ku byebaayitamu, n’ebyawandiikibwa mu biseera ebyo tebikyaagya mu nsi ya leero. Okugeza, tetuwagira buddu, oba okukuba omuntu amayiinja asangiddwa mu bweenzi.

Sinakiindi ki, engero n’ensomesa mu Bayibuli byaalina amaanyi ag’emjawulo mu bulamu bwaffe.

Amasakramentu

E Sakramentu, kikolwa kitukuvu. Unite Church erina amasakramentu abiri. Okubatiza ne kommunio ey’ekitiibwa. Bino bya muweendo nnyo eri enzikkiriza yaffe.

Batismu

Batismu ke kabonero akalaga obulamu obuggya Katonda bwatuwa nga tufuuka abantu ab’eKkanisa.

Okubatiza kukozesa amazzi agesigamye ku kunaaza oba okwerongoosa n’okukiriza obulamu obuggya mu Kkanisa. Era e Sakramentu lya Batismu lye lyokka erilaanga okuingira kw’omuntu mu Kkanisa.

Unite Church ebatiza abantu aba buli myaaka. Tukkiriza nti ekitone eky’okwagala kwa Katonda tekiva ku ntegeera yaffe. Kyekyo lwaaki tubatiza abantu okuva ku bawere okutuusa ku bakulu.

Mu baana, okwetegeka bakuwa eri abazadde oba abayaambi okubason\mesa engunjula y’abaana enKristaayo. Ku mukolo, buli omu mu bakungaanye yeeyama okuyaamba abaana bano n’abazadde baabwe. Okufuna okwagala kwa Katonda tekikwetaagisa kubeera mubatize. Tukkiriza nti omuntu bwaafa nga ssi mubatize, tabonerezebwa era ssi mukolimire. Batismu mu United Church ekkakasibwa amakkanisa amalala agabatiza abaana abawere. Era abantu abajja nga baabatizibwa mu Kkanisa endala, United Church ebaaniriza nga abaKristaayo.

Kommunio

Kommunio kye kijjulo eky’enjawulo buli omu kwayitibwa okwetabamu. Kitujjukiza e Kijjulo kya Yesu ekyaseembayo n’abagoberezi be, era kyeyongera okutulaga okwagala kwa Katonda okutakyuusibwa.

Okwanirizibwa kwa buli omu

Yesu yayanirizaanga buli omu; omwaavu, omuggaga, omulwadde, omulamu, eyetoongodde, n’asomye, omututumufu n’oyo ali yekka, omukakafu oba oyo abuusabuusa. Ne United Church ejjaganya mu kino nga eyaniriza buli omu nga Yesu bweyakola, nga teboola myaaka, laangi, kibiina, obusobozi ne bwooba oli musiyaga.

Abaana

Ekkanisa egezaako nnyo okulungamya abantu mu myaka gyaabwe okuva ku bajjajja okutuuka ku bawere. Abaana tebatuunilirwa nga Bantu abalindwa okukula oba e kisanyusa ky’abakulu. Bayanirizibwa mu kujjumbira n’okutabaganya mu kkanisa n’ebitone byaabwe okulaakulanya e Kkanisa yonna.

Obufumbo

Abantu tubalaba ng’ebitone bya Katonda. Era tulaba nti omukwano gwonna gwetaaga okutegekebwa n’okuwuunda.

Enkungaana yaffe ngazi era eyaniriza buli omu.United Church egatta

  • Abo abaayawukano
  • Abantu ab’enzikiriza endala

Tukkiriza nti, Katonda ayagala abaagalana okubeera ab’amazima, ab’obuvunaanyizibwa, ab’obweenkanya; abaagalana bano basobola okubeera wakati w’omusajja n’omukazi, omusajja n’omusajja, n’omukazi n’omukazi.

Enkolagana y’Amaddiini ag’enjawulo

United Church yekkaanya ensomesa n’empisa z’abantu bonna abagala eddembe ly’obuntu. Tukkiriza nti Mwoyo wa Katonda akola mu nzikiriza z’abantu ab’enjawulo.

Ffe abaKristaayo, Yesu ly’ekkubo mwetuyita okumanya Katonda. Entegeera yaffe ekomekerezebwa amagezi n’endowooza ey’omuntu. Katonda y’akyasiinga era akola mu nsi nga akozesa Mwoyo atayawula; Mu kkanisa y’omuKristaayo, ebifo eby’okusiiza ebya ba Buddhist, Hindu, oba ba Sikh, amasabo g’Abayindi bakasaangwaawo, Omuzikit gw’Omusiraamu ne Sinagooga y’Omuyudaaya.

Tukolera wamu n’amakkanisa amalala buli lwekiba kisobose, n’amaddiini amalala mu Canada n’ensi yonna ku nsonga ez’amazima, emirembe, n’ekitiibwa ky’obuntu.

Ebiseera bino, abantu b’enjawulo batwetoolodde, era tukkiriza nti, y’ensoonga lwaaki tulina okukijjagulizaamu.

Obwenkanya mu mbeera y’obuntu

Okufaayo eri munno kwaali kintu kikulu nnyo mu njigiriza za Yesu. Liisa abayala, nyweesa abalumwa ennyoonta, budamya abtalina nnyumba, yambaza abali obwereere, labirira abalwadde, kyaalira abali mu makomera.

Tukkiriza nti tweewa amaanyi okukolerera ensi ennungi mu kisa kya Katonda. Kyeekyo lwaaki tukolgana n’amakkanisa amalala, amaddini amalala, n’abantu abaagaliza emirember okumalawo obwaavu, n’okutaasa abeetaavu.

Wonna mu Africa, Asia, Latina America, ne Caribbean Unite Church ekolera mu makanisa143 n’ebitongole eby’enkolagana ebiyaamba okuloongoosamu mbeera z’abantu. Kino kiyamba okuliisa abayala, okulabirira abalwadde, n’okufunira abantu aw’okusula betutasobola kutuukirira ku lwaffe.

Last updated:
2007/05/27
Created:
2007/05/27